AKAMYUFU KA NRM: Abakyala balonze ku byalo
Ekibiina ki NRM kironze obukiiko bw’abakyala ku byalo okusobola okwetegekera okulonda kwa bonna. Mubitundu ebimu byetusobodde okutuukamu okulonda kujjumbiddwa ate awalala nga wakalu era obwedda abesimbawo bayitamu nga tewali abavuganyizza.