Abawangalira mu Lwera basabye gav't okubakiriza okulunda eby'ennyanja
Abatuuze abawangaalira mu byalo ebiri mu Lwera n'abalwanirira obutonde bwe nsi bazze beemulugunya olw’abantu abasima omusenyu ku lubuubuuto lw'ennyanja Nalubaale okwonoona obutonde bwensi.
Kati ebinya ebisimwamu omusenyu abatuuze baagala bakkirizibwe okulundiramu ebyenyanja era abakulembeze b’ekitundu kino balambudde abatuuze bano okulaba oba kino kyo tekiyonoone obutonde bwensi.