ABASIMA OMUSENYU E LWERA BAYIMIRIZIDDWA : Disitulikiti ye Mpigi egamba layisinsi
Abakulembeze mu disitulikiti y’e Mpigi bakedde mu Lwera okulondoola emirimu egikolebwayo. Eno basanze abasima omusenyu beliisa nkuuli, era kyebakoze kwekuyimiriza kampuni zonna ezisangiddwa nga zisima mu bumenyi bw’amateeka.
Bagamba nti nga disitulikiti banoonya ssente okuddukanya emirimu gyabwe kyokka nga abalina okuzibawa beerema okusasula emisolo ate nga bakolera mu disitulikiti yabwe.