Abalamazi bakonkomalidde mu mugga Katonga, basanze nga tewali waakuyita
Waliwo abalamazi okuva mu Kigo kye Kakoma mu district ye Isingiro abawerera ddala 75 abakonkolamidde mu lwera oluvannyuma lw’okusanga nga muggale. Amakya ga leero bakedde kusimbula ku Kigo ky’e Lukaya nga okwolelera Mitala Maria , kyoka kibabuuseeko okusanga ng’ekkubo likoma Bagamba nti bagenda kutuula mu Lwera okutuusa nga batondedwawo omukutu gw’ebanaayitako basomoke.