Abagoba b'ebidduka abakozesa oluguudo lwa Masaka bennyamivu olw’embeera oluguudo luno gyerulimu
Abagoba b'ebidduka abakozesa oluguudo lwa Masaka bennyamivu olw’embeera oluguudo luno gyerulimu naddala mu lwera. Bano bagamba buli nnaku nkulu lwezituuka nga lutandika okuwomoggoka eky’obulabe eri obulamu bwabwe. Kino kireetawo akasoobo k’ebidduka ku luguudo luno - ekitongole ky’enguudo ki UNRA bano kibagumizza nti lwakudaabirizibwa wadde nga bagamba nti ensimbi babawa ntono ezikola emirimu nga gyino