Ababba eby'amasanyalaze e Mityana bakwatiddwa, abamu ba UMEME
Ab’eby’okwerinda mu kiro ekyakesezza olwaleero abaliko abavubuka bebakutte kubigambibwa nti babadde benyigira mu kubba ebyuma eby’amasannyalaze. Ekikwekweto kino kyakoleddwa aba minisitule y’eby’amasannyalaze nga bayambibwako poliisi mu bitundu bya Wamala. Abakwate bakozi ba kitongole kya Umeme era nga basangiddwa ne maya z’amasanyalaze kko n’ebyuma ebirala.