Aba rotary e Katende bafunye pulezidenti omuggya
Bannalotale mu Rotary Club y'e Katende mu disitulikiti y'e Mpigi bakyusizza obukulembeze bwabwe mwebafunidde pulezidenti omuggya John Bosco Kyeyune ng'ono agamba mu kisanja kye, essira waakulissa ku kubunyisa enjiri y'okukuuma obutonde bw'ensi nga atandikira mu masomero naddala aga pulayimale. Emikolo gy'okumutuuza gyibadde ku Ntwatwa Gardens e Katende nga gyikulembeddwamu Vice Chancellor wa Uganda Martyrs University Prof. Patrick Edrin Kyamanywa