Aba China abaasangibwa basima omusenyu: Baddiziddwayo ku alimanda e Luzira
Kkooti evunaanyizibwa ku mutindo n’obutonde bw’ensi esindise bannansi b’eggwanga lya China musanvu ku alimanda mu kkomera e Luzira nga balangibwa kwonoona lutobazzi lwa Lwera nga balusimamu omusenyu mu bumenyi bw’amateeka.
Bano tebasobodde kwewozaako oluvanyuma lwa munnamateeka wabwe obutabaawo.
Kati omulamuzi Gladys Kamasanyu alagidde badizibweyo ku alimanda e Luzira nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.