ENSONGA Z'ABASUBUUZI MUZIWULIRIZE : Omulangira Nakibinge awabudde URA
Jajja w’obusiramu mu ggwanga omulangira Kassim Nakibinge ayagala ekitongole ekiwooza ky’omusolo ki Uganda Revenue Authority kitunule mu kukaaba kw’abasuubuzi n’obwegendereza. Mbuga agamba nti ensonga y’omisolo kaakano ekaabya abasuubuzi tegwana kupapirwa, kubanga kino kiyinza okugotaanya ebyenfuna naddala nga abasuubizi baggala amaduuka gaabwe. Bino bibadde mu bubaka bwawadde abasiramu bwabadde abasembezza ku kijjulo kya Eid mu makaage ku kasozi Kibuli.