OKULAMAGA E NAMUGONGO:Ebibinja eby’enjawulo by’ongedde okusenvula
Ekibinja ky’abalamazi abala okuva mu bitundu by’e Mbarara olunaku olwaleero batuuse Mityana,nga kino ky’ekibinja ekisoose okutuuka e Mityana. Abalamazi bano basooka kulamaga e kiyinda mityana, oluvanyuma ne batandika ku lugendo olutuuka e kampala. Mungeri y’emu n’ekibinja ky’abalamazi ekirala okuva mu bulabirizi bwe Mbarara nakyo kimaze okuyita mu Mpigi nga bano bbo baayise ku luguudo lwe Masaka.