ZUNGULU: Nsereko Moses yenna amulabako saasira busaasizi
Ekibiina ki National Unity platform kyakakasizza dda agenda okukikwatira bendera mu kalulu ka Kawempe North, wabula waliwo abakyali ku drip mu ddwaliro olw'ebyavaamu okuba nga tebyabasanyusa. Nsereko Moses yenna amulabako saasira busaasizi kubanga ye yabadde mukakafu nti yanalangirirwa. Ogenda kulaba n'abayizi abasoma okuyiga oluzungu lw'okuvuga motoka.