YOWANINA NNANYONGA: Emboozi y’omukazi eyawa abantu ettaka ‘okuwona siriimu‘
Nga tugenda mu maaso n'emboozi ezitwakagana ku bikwatagana nekirwadde kyamukenenye gyetuvudde negyetuli kati , olwaleero tuleese bikwatagana ku mukyala Yowanina Nnanyonga eyayatiikirira ennyo mu mwaka gwa 1989 . Ono yategeeza ensi nga bweyali afunnye okwolesebwa nti ettaka eryali mu lujjaalwe lyali lisobola okuwonya ekirwadde kya Mukenenya ekyaviirako enkumi nenkumi z'abantu okweyiwa mu makaage . 'Wadde Nanyonga yafadda abamu ku batuuze nabamuli ku lusegere batubuulidde bwebyali . Bino byali mu disitulikiti ye Ssembabule.