Wuuno Edith Aliguma Adyeeri ssentebe wa disitulikiti omukyala atemotyamotya
Obwa ssentebe bwa disitulikiti mu uganda kyekimu ku bifo eby’obukulembeze ebisinga okubaako emirimu emingi olw’obugazi bwakyo n’ebyetaagoebitakoma. Kino kitera okukugira abakyala okwegwanyiza entebe ng’eno nga batya okwetikka obuvunanyizibwa obungi. Mu mboozi eno tuwayizaamu ne Edith Aliguma Adyeeri ssentebe wa disitulikiti ye Kiryandongo,ng’eno y’emu ku disitulikiti ezikyasinze obunene ate nga Y’esinga kuwangaliramu babundabunda okuva mu buli nsonda ya ggwanga n’amawanga agaliraanye Uganda.