TWOGEZE EDDOBOOZI LIMU :Ababaka abakyala aba NUP basabye bannaabwe abali mu palamenti
Ababaka ba Paalamenti abakyala abava mu kibiina ki National Unity Platform oba NUP bekokodde bannaabwe bwebakiika mu palamenti abalabika nga bakyeremye okwogera ne ddoboozi erimu mu kituuka ku kulwanirira eddembe ly'abakyala n'abaana Bagamba bangi ku bannaabwe bakulembeza nnyo ebibiina by'obufuzi mwebava okusinga obuwereza eri abantu ababalonda. Bino bibadde mu lutuula lwabwe olusoose bukya balya bifo bino. Abaliko ababaka Miria Matembe, Winnie Kiiza wamu n'omukyala w'akulira NUP Barbie Kyagulanyi baliko entanda gyebabasibidde.