TTIIMU YA WAKISO GIANTS: Ebbuggumu ly' eyatandika nalyo lyaddawa?
Kirabu ya Wakiso giants yemu kw’ezo ezaatandika ne ttutumu nga ziyingira liigi y’eggwanga okuva kibinja kya Big League ekyalowozeesa abawagizi b'omupiira nti oba olyawo baali bakuteekawo okuvuganya okwamanyi mu liigi. Wabula wakayita ebanga lya myaka esatu bukya ttiimu eno esumusibwa naye nga tebalina bikopo. Twogeddeko n'abakulembera ttiimu okwongera okutegeera kwekiva.