Ssekikubo alabiseeko okuwakanya obuwagizi bwa Rwashande
Omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo y'omu ku balabiseeko eri akakiiko ka NRM akassibwawo okugonjoola okwemulugunya ku byava mu kamyufu, olwaleero okuwakanya obuwanguzi bwa Munnamagye Emmanuel Rwashande. Ye Omubaka wa Budiope East Moses Magogo naye azze ne mukyala we era sipiika wa Palamwenti Anita Among, okwewozaako eri abeemugulugunya ku buwanguzi bwe .