Ssaabasumba Paul Ssemwogerere asabidde omunoonyereza ku ddagala ly'ekinnansi David Ssenfuka
Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemwogerere asabidde omunoonyereza ku ddagala ly'ekinnansi David Ssenfuka omukisa enteekateeka z'okutwala eddagala lye mu maaso zigende bukwakku asobole okuyamba Bannayuganda ababonaabona n'eddwadde za Sukaali ne Kkansa. Akubirizza Bannayuganda okujjukira nti bali mu kisiibo beeyise mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa. Ssaabasumba abadde akyaddeko mu maka ga Prof. Maria Musoke mu Lusanja - Kiteezi ng'ono abadde ne mikwano gye okuli eyali Katikkiro wa Buganda Mulwanyammuli Ssemwogerere n'eyaliko omumyuka wa Ssenkulu wa Makerere, Prof. Ddumba Ssentamu.