Sipiika Anita Among agumizza banna Lwengo ku mubaka waabwe Cissy Namujju eyakwatibwa
Sipiika wa Palamenti Anita Among agumizza banna Lwengo ku Mubaka waabwe omukyala Cissy Namujju eyakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku buli bwenguzi ng'agamba nti essaawa yonna wakuvuunuka emitawaana gyalimu. Among asinzidde Katovu mu district ye Lwengo bw'abadde gyatongolezza ekitongole ky'omubaka wa Bukoto West Muhammad Ssentaayi ekiyitibwa ki Ssentaayi Development Foundation. Ono awaddeyo obukadde 50.