Ebyenjigiriza Ebitamatiza: Abazadde batisatiisizza okujja abaana mu ssomero
Mu disitulikiti ye Buvuma abazadde batisatiisizaa okujja abaana baabwe ku somero li Bweema Seed Secondary School erisangibwa mu ggombolola ye Bweema , nga kiddiridde okukimanyaako nti abadde alikulira wa kukyusibwa.Abazadde bagamba nti omukulu w'e ssomero gavumenti gweyagala okukyusa yakola butaweera okuzimba essomero lino okulituusa ku mutindo gweririko, kale nga okumubajjako kigenda kukonya eby'ensoma bya baana baabwe.