Ebyenjigiriza E Bwama:Abayizi n’abasomesa bakyayita mu bugubi
Ekimu ku bikyasibye ebyenjigiriza ku bizinga by'ennyanja Bunyonyi mu district y'e Kabaale by'ebyentambula ebikalubu ku nnyanja eno.
Ekizinga Bwama, kirina amasomero abiri gokka Kyokka ng'oggyeko ekyo, agalina omujjuzo mungi ekikaluubiriza abasomesa.
Twatuseeyo okulaba obugubi abasomesa bwe bayitamu okukakasa nga amasomero gano gasigala gatambula bulungi.