Prisons ne Ndejje University zeeriisizza nkuuli mu mpaka za Handball
Ttiimu ya Uganda Prisons ey'abakyala ekubye Kyambogo University ggoolo 40-18 mu gumu ku mizannyo gya liigi ya handball egizanyiddwa olwaleero ku kisaawe kya Police Childrens School neyongera okwenywereza mu kifo ekyokubiri mu liigi eno.