Poliisi erinnye eggere mu lukungaana lw’abakyala ba NUP
Aba NUP mu bitundu bye Ntebe bakukkulumidde Poliisi okulinnya eggere mu mukolo ogwabadde gutegekeddwa abakyala mu kibiina kino okubaako bye bawa bakyala bannaabwe abali mu mirimu egyenjawulo. Omukolo guno gwabadde gutegekeddwa ku Kisaawe kye Kawafu wabula Poliisi yagulemesezza era n'ebowa n'ebidongo ebyabadde bikozesebwa.