PAAKA Y’E BUSEGA: Abagikoleramu bakukkulumidde UNRA, ebaanukudde
Waliwo Abagoba ba takisi abaakoleranga mu paaka ya Takisi eyasendebwa e Busega abakukkulumidde abakulu mu UNRA ne NEMA olw’okubalemesa okukolera mu kibangirizi kyebalimu nga bagamba nti baagobwa mu bukyamu. Bano abalumiriza nti balina ebiwandiiko okuva mu NEMA ebyali bibakkiriza okukolera mu kifo kino, bagamba nti kati batataaganyizibwa olwokukolera ku luguudo.Kyokka UNRA bano ebaanukudde ng'egamba nti baaliwo mu bukyamu.