Omwana eyatulugunyizibwa e Kira kati atereddemu
Claire Tumwekwase omwana ow'emyaka ena eyalabikidde mũ katambi nga atulugunyizibwa omukozi w'awaka mu bitundu bye Kira, amaze n'akuba ku matu . Ono ali mu ddwaliro e Nsambya gyeyaddusiddwa okufuna obujjanjabi era ng'olwaleero minisita w'ensonga z'abaana n'abavubuka Balaam Barugahara amulambuddeko. Poliisi etubuulidde ng'omukazi Precious Tumuhirwe eyatuusizza omwana ono ku kyokya bwagenda okuggulwako ogw'okugezaako okutta n'okutulugunya okusukkiridde.