OMUSOLO KU JJOOLA: Abasuubuzi batabuddwa, amadduuka bagaggadde
Abasuubuzi b'engoye olwaleero tbeedimye nebagaana okuggulawo amadduuka gabwe nga bawakanya engeri ekitongole ekyemisolo ki URA gyekibasolooza. Bano bawakanya ekyokupimiira joola z'engoye mu kiro olwo nebalyoka bajjibwako omusolo. Kitegeerekese nga okwogeraganya wakati w'abatwala abasuubuzi aba KACITA n'abakulu mu Minisitule y'ebyensimbi okusobola okugonjoola ensonga zino olunaku lwegulo bwekutaavuddemu kalungi