OMULEMBE GWA DIGITO: Emikutu ginnansangwa girabuddwa ku nkyukakyuka
Okumerukawo kw'emikutu gyamawulire naddala egya yintaneeti gireeseewo okutya nti kampuni z'amawulire zzi nnansangwa z'andisaanawo singa tezerwanako kutuukana na mulembe oguliko. Mu mboozi eno abakugu batubuulidde ebimu ku biyinza okukolebwa naddala kuludda lwabamawulire okulaba nga tebalekebwa mabega.