OKWONGERA KU KKOOTI: Ssaabalamuzi Dollo afulumizza enteekateeka
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Ddolo afulumizza enteekateeka y'okwongera ku namba ya kkooti okwetoolola eggwanga okutuusa obuweereza ku bantu. Bwabadde aggulawo olukunnggana lwa abalamuzi olwa 23, ssabalamuzi ategeezezza nti pulezidenti yalagidde dda minisita w'ebyensimbi okwongerza bbajeti y'essiga eddamuzi okutuusa ku buwumbi 800 buli mwaka. Agamba enteekateeka zaabwe bwezinaaba ziwedde, kkooti bannayuganda zijja kubabeera kumpi nnyo.