Okwetonda kwa Museveni abagoberera ebyobufuzi bakukubyemu ebituli
Abatunuulizi b’ebyobufuzi bagamba ekya Pulezidenti Museveni okwetonda n’ebigambo tekimala kuzza mitama gya BannaUganda abanyigiriziddwa gavumenti gy’akulembedde kati kumpi emyaka ana.Bano bagamba nti engeri yokka gy’ayinza okwetondamu kwekuddako ebbali, kisobozese abantu abalala nabo okutwala eggwanga mu maaso.