OKWEKENGERA ABABUNDABUNDA : Abakulu e Bundibugyo bagamba abava e Congo baligya n’endwadde
Waliwo obweraliikirivu mu bakulu abatwala disitulikti ye Bundibugyo olw'omuwendo gw’abantu abayingira eggwanga okuva ku muliraano mu DRC okweyongera. Kino kiva ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku bantu mu kiduntu kya NOBIL mu DRC.Wetwogerera ng'abantu abasukka mu lunaana be bakayingira eggwanga nga bayingirira ku nsalo ye Busunga e Bundibugyo wabula nga tekimanyiddwa oba nga bageme ekirwadde ki Covid-19.