OKUSOMERA KU MUTIMBAGANO: Waliwo abakozesa abatawa mirimu basomeddeko
Mu mpola mpola enkola y'okusoma ng’abayizi basinziira ku mutimbagano ezze efuuka ya bulijjo mu ggwanga Uganda. Kyokka ekisinga okumalamu amaanyi abayizi abafuna ebisanyiizo mu masomo agatali gamu nga babadde bagasomera ku mitimbagano, kibakaluubirira okumatiza abakozesa okubawa emirimu nga balowooza nti okusomera ku mutimbagano oli aba talina kyayize. Kati nno gavumenti kino eyagala efune bw'ekisalira amagezi kubanga egamba erina enteekateka okufuula ensomesa eno ekitundu ku ngeri bannayuganda gyebafunamu obukugu obutali bumu.