OKUNYWEZA OMULIMU GWA BBAASI: Minisitule y’ebyentambula ebangudde bannyini zo
Mu kaweefube w'okulungamya omulimu gwa Baasi Minisitule yebyentambula nga eri wamu ney'ebyobusuubuzi batandise okubangula bannyini baasi ku ngeri gye bayinza okwekolamu ebibiina mwebasobola okuddukanyiza omulimu guno Okusinziira ku Minisita omubeezi ow'ebyentambula Fred Byamukama, ebibiina bino era bijja kuyambako bannyini baasi zino okwekulaakulanya okusinga bwegubadde.