OKULWANYISA SIRIIMU : Waliwo kaweefube atongozeddwa
Minisitule y'ebyobulamu entongozza Kampeyini empya eyitiddwa “HIV Time Up” nga egendereddwamu kulaba nti akawuka ka siriimu kalinnyibwa ku nfeete wegunatuukira 2030.Minisita w'ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng agamba nti kino kisoboka singa wabaawo okukwatiza awamu.