OKULWANYISA OBUKENUZI: Eyali ‘diyirekita’ we Mulago asindikiddwa e Luzira
Eyali akulira eddwaliro lye Mulago Dr. Byarugaba Baterana asimbiddwa mu kkooti olwaleero naggulwako emisango gy’okufiiriza gavumenti obuwumbi mukaaga mu obukadde bisatu. Ono nga asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira, kigambibwa nti aliko ebikozesebwa byeyasasula mu nkola emenya amatteeka so nga waliwo nebyasasulwa emirundi ebbiri.Okusinziira ku ssaabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo, emisango gino yagizza mu bbanga ery’emyaka ekumi n’ogumu lyeyamala nga yakulira eddwaliro lino.