OKULWANIRIRA BANKUBAKYEYO: Mwiza agamba waliwo abaagala okumukolako obulabe
Waliwo omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu aliira ku nsiko olw'abantu abamulondoola b’alowooza nti bayinza okumukola ekikyamu. Mariam Mwiza ng’ono asiinga kulwanirira ddembe lyabakubakyeeyo yatuuse n’okudduka mu ggwanga nga agamba nti obulamu bwe buli mu matigga. Ono agamba nti azze afuna obubaka obumutiisatisa kko n’abantu abamulabula okugenda empola ensonga ezimu naddala ezikwata ku kampuni ezimu ezitwala abantu ku kyeyo.