OKULAMAGA E NAMUGONGO :Waliwo abalamazi abakonkomalidde mu Lwera
Abalamazi okuva mu Kigo kye Kakoma mu district ye Isingiro abawerera ddala 75 bakonkomalidde ku mugga Katonga oluvannyuma lw’okusanga nga tebalina webayita. Bano bagamba bavudde mu Kigo e Lukaya ne bolekera Mitala Maria nga balowooza waliwo ab’ebigere webayita wabula kibabuuseeko okusanga nga ekkubo liteereddwamu emisanvu nga mpaawo akkirizibwa kugiyitako.