Okujjukira Joan Kagezi: Ssaabawaabi abodo: Okukwata abaamutta kituwewudde
Ssaabawaabi wa gavumenti Jane Francis Abodo akigumizza nga bwebali abamativvu nti ddala kati balina abantu bebali mu kuvunaana nga beebatta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi. Kagezi yasindirirwa amasasi mu 2015 mu bitundu bye Kiwaatule.
Abodo abadde ayogera ku nteekateeka y'omusomo ogukwata ku kujjukira Joan Kagezi okugenda okubaawo ku lwokuna lwa wiiki ejja.