Okuggyayo empapula mu FDC kutongozeddwa
Ekibiina ki Forum for Democratic Change kitegezezza nga abaagala okuvuganya ku bifo nga obubaka bwa palamenti ba ssentebe ba disitulikiti egombolola ne bameeya b’ebibuga bwebatetaaga kujja ku kitebe okukima emppapula okulaga obwetaavu bwabwe,wabula beyambise wofiisi eziri ku buli disitulikiti. Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu FDC Toterebuka Bamwenda atugambye nti kino baakikoze kuyamba bannakibiina abali ewala, baleme okwonoona ensimbi n’obudde nga bakima empapula n’okuzizaayo.Okukima empapula kuno kutandise leero , kukomekkerezebwe nga 11 omwezi guno, songa okusunsula kwakubaawo wakati wa 16th - okutuuka nga 17th omwezi guno.