Obubbi bw’mmwanyi:Waliwo bana abakwatiddwa e Mpigi
Poliisi ye Mpigi eriko abavubuka 4 begombyemu obwala oluvannyuma lw'okusangibwa n'ensawo z' emmwanyi ezisukka mu 20 ezirowoozebwa okuba enzibe. Bano okukwatibwa kyaddirirdde abatuuze ku kyalo bukooma mu ggombolola y’e Kituntu mu disitulikiti ye Mpigi okwekubira endulu olw'emwanyi zaabwe zebaakedde okwanika ezabbiddwa.