Nadduli awabudde Museveni; ayagala ayimbule abazze bakwatibwa olw’ebyobufuzi
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda era eyaliko minisita atalina kifo kyankalakalira Abdul Nadduli agamba nti Museveni asaanidde ayimbule abantu bonna abazze bakwatibwa olw’ebyobufuzi olwo okwetonda kwe kulyoke kubeemu ensa. Nadduli agamba okwetonda kw'omukulu kusaanye kujjireko ebikolwa olwo abantu bakakase nti ebigambo bye tebyavudde ku lupapula kwe yabadde asoma wabula ku ntobo y'omutima gwe. Herbert Kamoga awayizzaamu naye mu mboozi eyakafubo.