Muyimbule omuntu waffe - Aba famire ya Eddie Mutwe bawanjagidde Muhoozi
Aba Famire ya Eddie Ssebuufu amanyiddwa nga Eddi Mutwe bawanjagidde ssaabaduumizi w’amagye Muhoozi Kainerugaba ayimbule omuntu waabwe oba amutwale mu kkooti bwekiba ngalina emisango egimuvunaanibwa. Bano batubuulidde ng’embeera bwebazibuwalidde okuva omuntu waabwe lwe yawambibwa Olwaleero bano ssenkulu wa NUP Robert Kyagulanyi abakyaliddeko okubagumya.