Musigansimbi omutuluuki bamusalidde engassi ya bukadde 200
Waliwo munnansi wa Turkey kkooti gwetanzizza obukadde 200 nga emulanga kuyiwa ttaka mu lutobazzi lw’e Lwajjali olusangibwa ku kyalo Gongobe e seeta mu division ye Goma mu distulikiti y’e Mukono . Kkooti evunanyizibwa ku by’omutindo n’obutonde bw’ensi ono emulagidde okuzaawo ekitundu ky’olutobazi kyeyayonoona mu bbaga lya mwezi gumu .Bbo bannansi ba china musanvu baziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira nga nabano balangibwa kwonoona lutobazzi lwe Lwera olusangibwa mu disitulikiti ye Kalungu.