Molly Katanga asabye kkooti emukkirize okweyimirirwa
Molly Katanga nga ye mukyala w'omusuubuzi hennry Katanga eyattibwa ataddeyo okusabamu kkooti enkulu nga ayagala emukkirize okweyimirirwa .Molly mu kiseera kino ali mu kkomera ku bigambibwa nti yeenyigira mu kutta bba Henry Katanga .Molly avunaanibwa wamu nebawalabe Patrica Kakwanza ne Martha Nkwanzi nga bano bbo bavunaanibwa misango gyakubuzaawo bujjulizi obw'enkizo mu kufa kwa Kitaabwe .Abalala abavunaanibwa yemukozi w'awaka George Amanyire n'omusawo Charles Otai.