Mathias Mpuuga agamba enkolagana wakati w’ebibiina yeeyongedde
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga agamba nti agezezaako okutereeza enkolagana y'ebibiina ebivuganya gavumenti munnaku ze 100 ezisoose mu kifo kino. Mpuuga agamba nti enkolaga eno yali etotoganye nyo webaviira mu kalulu, wabula ngabayita mu kuteesa basobodde okugonjola ebimu ku byali bibaawula. Ono era ayogedde ne kumiru wamu n'ebisomooza ebirala byasanze.