Kakwenza Rukirabashaija atubuulidde by’ayiseemu nga mukwate
Omuwandiisi w'ebitabo Kakwenza Rukira Basahaija atubuulidde nga obulamu bwe bwebuli mu katyabaga. Ono kkooti yamukkiriza okweyimirirwa ssabbiiti eno , wabula naddamu okukwatibwa okuva mu kkomera e Kitalya olwo abaamukwata nebamukunguzza okutuusa awakaawe e Iganga mu Matumbi budde mu kiro ekyakeesa olw'okusatu. Ono olwaleero abasawo bamwekebezze olw'ebigambibwa nti yatulugunyizibwa bamukwata mmundu.