ETTEEKA KU BASAWO B’EKINNANSI: Ababakulira batandise okubabangula ku biririmu
Oluvannyuma lw’ebisigalira by’abantu basatu okubbibwa abantu abatannategeerekeka mu ntaana gye byaganzikibwa mu district y’e Buyikwe ku bbalaza ya ssabbiit eno, abakulembeze b'abasawo b'ekinnansi bongedde amaanyi mu kubangula bannaabwe ku tteeka erirungamya omulimu gwabwe. Sofia Namutebi nga y'akulira abasawo bano, atubuulidde nti omulimu guno gwakukolebwa okwetoloola eggwanga.