ENSAASAANYA KU MAFUTA: Abamu ku bakozi bakkirizza nti waliwo kkaadi ez’empewo
Onojjukira nti mu kubuuliriza kw'akakiiko k'ebyobusuubuzi okugenda mu maaso ku nsaasaanya y'ensimbi mu Minisitule y'ebyobusuubuzi naddala ku buwumbi 54 ezenyongereza ze baafuna mu mwaka 2021/2022, kyazuuse nti waliwo abakozi basatu abaakozese obukadde 357 mu mafuta mu mwaka guno so nga omugatte balina okukozesa obukadde 18 bwokkaAbakozi bano leero balabiseeko mu kakiiko n'ebeegaana okubaako kye bamanyi ku nsonga eno. Omu ku bano ategeezezza akakiiko nti waliwo kkaadi z'amafuta ez'empewo nga n'amanya gaabwe mwegaakozesebwa Na bakkampuni etunda amafuta eya Total nabo mu kakiiko babaddeyo.