EMISANGO GY’AKAMYUFU KA NRM: Baakawa ensala ku misango 46
Olwaleero akakiiko k’ekikibiina ki NRM akateekebwawo okuwulira okwemulugunya kwabaavuganya mu kamyufu ka NRM katandise okufulumya ensala yaako ku misango 381 gyekakolako. Bano leero batubuulidde nti bamaze okutyemula emisango 46, nga kuno kuliko ogwawaabwa Joseph Mukasa ng’alumiriza Dickson Kateshubwa okubba akalulu ka Sheema Municipality, ogwa Muyanja Mbabali ne Charles Matovu mu Bukoto South, Isaac Atukunda ne Henry Tumukunde mu minisipali ye Rukungiri kko n’emirara. Kati bano balindiridde abawaaba emisango gyino okujja mu buntu ku kitebe bategeezebwe ebyavudde mu misango gyebawaaba.