OKUNOONYA AKALULU KA CEC:Aba NRM basiibye basaggula buwagizi
Abeegwanyiza ebifo ku lukiiko olufuzi olwokuntiko mu kibiina ki NRM wetwogerera nga batabaala buli kasonda ka ggwanga okukuyega bannakibiina babalabire ddala nga okulonda kutuus.Mu bakedde okuwenja obuwagizi kuliko Rebecca Alitwala kadaaga nga ono ayagala kyamyuka ssentebe w’ekibina omukyala,Joseph Ssaava nga ono ayagala kyamyuka ssentebe w’ekibiina mu Buganda kko ne Adrine kobusingye nga ono yeegwanyiza ekifo ky’akulira abakyala mu NRM.