Omulambo gwa Rhoda Kalema gukomezeddwako ku butaka
Enkya ya leero omubiri gw’omugenzi Rhoda Kalema gukomezedwawo mu ggwanga okuva mu dwaliro lya Aga khan e Kenya gyeyafiira ku sande eno.Ku kisaawe entebe omulambo gw’omugenzi gwaniriziddwa ebenganda ne mikwano , oluvanyuma ne gutwalibwa mu maka omukuumirwa abagenzi aga A plus.Singa tewabaawo kikyuka omubiri gwomugenzi gwakuziikibwa ku lwakutaano mumu disitulikiti ye Kiboga.