Omuyizi eyafiiridde ku Seeta High School:Aba famire bamuziikidde mu kwemulugunya
Kevin Nsamba, omuyizi abadde asomera ku ssomero lya Seeta High School ery’e Mbalala Mukono eyafiiridde mu kidiba ky’essomero ekiwugirwamu olwaleero aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Mpalampa mu ggombolola y’e Kibinge mu district y’e Bukomansimbi.Kyokka omusawo wa poliisi Moses Byaruhanga ategeezezza nga essomero bwe litalina musango mu nfa y’omuyizi n’akiteeka ku muyizi okuyingira mu kidiba nga tamanyi kuwuga. Ab’oluganda balaze nti tebamatidde na nfa ya mwana waabwe.